Amawulire

Kkooti eragidde Col. Bagyenda okuliyirira Omusuubuzi gwe baatulugunya

Kkooti eragidde Col. Bagyenda okuliyirira Omusuubuzi gwe baatulugunya

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu Kampala eragidde eyali akulira ekitongole ekikesi ekya ISO, Col Kaka Bagyenda nábakuuma ddembe abalala 14 okusasula obukadde bwénsimbi za Uganda 175 eri omusuubuzi agambibwa okuba nti yatulugunyizibwa era násibwa kuzinga Lwamayuba ekisangibwa e Kalangala.

Ono kigambibwa nti yasibwa okumala ebbanga lya mwaka mulamba nómusobyo nga taguddwako musango gwonna.

Ekiragiro kino kiyisibwa omulamuzi Musa Ssekaana.

Kino kidiridde Omusuubuzi Musa Nsereko okukakasa kkooti nti ngennaku zómwezi May 27th 2018 abakuuma ddemba nga bakulembedwamu aba ISO bamusanga Kyengera  bweyali agenda e Nabbingo mu disitulikiti ye Wakiso ne bamukwata ne bamusibira ku kizinga awatali ku mubuulira nsonga emusibya.

Nsereko yakakasiza kkooti nti yamala emyezi 17 mu kaddukulu nga takkirizibwa kulaba béngandaze, bannamateeka yadde okugenda mu ddwaliro yadde yali atulugunyizibwa nyo.