Amawulire

Kkooti enywezeza ekibonerezo kyéyasobya ku mwana wémyaka 7

Kkooti enywezeza ekibonerezo kyéyasobya ku mwana wémyaka 7

Ivan Ssenabulya

June 9th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ejulirwamu ekkirizza ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 25 eri omutunzi w’edduuka eyasingisibwa omusango gw’okukabasanya omwana ow’emyaka 7 oluvannyuma lw’okumuwa ekiwoomerera ne sillingi amakumi ataano.

Joseph Lwanyaga ekibonerezo kye kinywezebwa abalamuzi 3 nga bakulembeddwamu omumyuka wa Ssaabalamuzi; Richard Buteera, Catherine Bamugemereire ne Eva Luswata.

Lwanyaga yasingisibwa omusango omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka mu kiseera ekyo kati omulamuzi omukulu Dr Flavian zeija mu December wa 2016 n’amusalira ekibonerezo ky’okumala emyaka 25 mu kkomera.

Olw’okuba yali si mumativu n’okusalawo okujjulira ng’agamba nti ekibonerezo ekyamuweebwa kikambwe.

Wabula abalamuzi abasatu awatali kwekutulamu baasazeewo nti ekibonerezo ky’emyaka 25 kisaanidde okusinziira ku mbeera omusango gye gwakolebwamu.

Bano bagamba nti omusibe asanye okubeera ekyokulabira eri agasajja ga ssedduvutto agagala okulya ebitanajja.

Kigambibwa nti omusango guno gwakolebwa mu 2016 ku kyalo Kyamukama mu Disitulikiti y’e Lwengo, ng’omwana eyakwatibwa yali azannya n’abaana abalala okumpi n’edduuka ly’omuwawaabirwa, yalabibwa ng’ayingira edduuka ku ssaawa nga musanvu, era ekyadirira ku mukozesa.