Amawulire

Kkooti enywezeza ekibonerezo ku musajja eyasobya ku mwana

Kkooti enywezeza ekibonerezo ku musajja eyasobya ku mwana

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ejulirwamu nywezeza ekibonerezo eky’okusibwa emyaka 23 ekyaweebwa omusajja eyasobya ku mwana wa muliraanwawe ow’emyaka 6 n’amusiiga akawuka ka siriimu.

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mpigi mu kiseera ekyo Kaweesa Isabirye Henry, yamusingisa Ronald Mutebi, omusango n’asibwa emyaka 23 mu mwaka gwa 2019.

Wabula Mutebi olw’obutamatira nakibonerezo ekyamuweebwa yaddukira mu kkooti okukiwakanya nga agamba nti bamulamuza bukambwe.

Kati akakiiko k’abalamuzi basatu okuli lizabeth Musoke, Christopher Gashirabake ne Eva Luswata, kaasazeewo nti ekibonerezo ky’emyaka 23 tekyali kikambwe nakatono okusinzira ku musango gweyaza.

Oludda oluwaabi lugamba nti omusango yaguza nga 15th October 2017 ku kyalo Lukonge, e Kayabwe mu disitulikiti y’e Mpigi.