Amawulire

Kkooti enywezeza ekibonerezo ku Musajja eyasobya ku mwana atanetuuka

Kkooti enywezeza ekibonerezo ku Musajja eyasobya ku mwana atanetuuka

Ivan Ssenabulya

August 12th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ejjulirwamu mu kampala egobye omusango Taata eyasalibbwa ekibonerezo ekyókusibwa emyaka 26 oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okusobya ku mwana wa mukaziwe mujja-nannyina ow’emyaka 8.

Mugerwa Paul eyali ow’emyaka 36 mu kiseera ekyo yasalirwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 26 oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okuyonoona muwala w’omukaziwe mungeri ey’obukambwe omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka mu kiseera ekyo Margaret Oguli Oumo.

Omulamuzi Oguli bwe yali amusalira ekibonerezo yategeezezza nti ekibonerezo kino kyali kya kumuyamba okwetereeza n’okukola ng’ekyókuyiga eri abasajja bakagwensonyi abalala.

Kati abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu nga bakulembeddwamu amyuka ssaabalamuzi, Richard Buteera, nabo bagobye omusango gwe nga bagamba nti ekibonerezo ekyamuweebwa tekyali kikakali okusinziira ku musango gweyaza ate nga abantu abékikula kiti amateeka galagira kuwanikibwa ku kalabba.

Ono omusango yaguzza mu mwaka gwa

201I mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi.