Amawulire

Kkooti ensukkulumu enywezezza ekibonerezo kyémyaka 16 eri eyatta bba wa Ssenga we

Kkooti ensukkulumu enywezezza ekibonerezo kyémyaka 16 eri eyatta bba wa Ssenga we

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ensukkulumu ekakasizza ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 16 nga bwe kyakakasibwa kkooti ejulirwamu eri Robert Kitaka Nsubuga oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okutta bba wa ssengaawe mu 2016.

Kyakakasibwa oludda oluwaabi nti nga 14th February 2015 ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, omugenzi yali agenda waka era bwe yasemberera amaka ge, Nsubuga n’atambula n’amutuukako namuyiira ebintu ebyamazzi ebigambibwa okuba acidi  ebyamwokya ffeesi, ensingo, omugongo, ekifuba nomutwe.

Oluvannyuma yaddusiddwa mu ddwaaliro e Mulago gyeyategereza nti Nsubga yamusse wabula enkeera yafa olwebisago ebyámaanyi ebyamutuusibwako.

Nsubuga yakwatibwa, n’awozesebwa, n’asingisibwa omusango gw’obutemu n’asibibwa emyaka 16 kyokka n’awakanya omusango n’ekibonerezo.

Yeewozezzaako nti mu kiseera obulumbaganyi obwo webwabereerawo yali mu maka ge ng’alaba ttivvi oluvannyuma n’afuluma ne mukyala we ne basena amazzi mu ttanka okutuuka ku ssaawa 9 ez’ekiro.

Ono yalumiriza nti ssenga we yamukyawa kubanga ye yaleetera omwana we okusibwa, kyokka kkooti ejulirwamu yawakanya obujjulizi bwe kuba omugenzi yasobola okumwetegereza nga amulumbye.

Abalamuzi bataano nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi Alifonse Owiny Dollo bagobye Okujulira kwe okw’okubiri nga bagamba nti tekulimu nsa.

Kati balagidde Nsubuga okugenda mu maaso n’okumalayo ekibonerezo kye eky’okusibwa emyaka 16 nga kkooti ejulirwamu bweya kimugerekera.