Amawulire

Kkooti enkulu ekendezeza kunsimbi za Besigye eza Beyilo

Kkooti enkulu ekendezeza kunsimbi za Besigye eza Beyilo

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah, 

Kkooti enkulu mu kampala wansi womulamuzi, Micheal Elubu ezeemu okwekenenya obukadde bwensimbi 30 ezaali zisabiddwa eyali senkagale wa FDC Dr Kizza Besigye’s okusobola okumuwa okweyimirirwa okuva mu kkomera ku misango gyókukuma omuliro mu bantu.

Kati Besigye alagibbwa okusasula obukadde bwensimbi busatu avve mukomera awoze ng’ava bweru.

Okusinzira ku mulamuzi Elubu, ensimbi obukadde 30 ezasabibwa omulamuzi wa kkooti eyokuluguudo Buganda, Siena Owomugisha, zaali mpitirivu ku musango gweyaza.

Ono anyonyodde nti engeri gyekiri nti omusango ogwokukuma omuliro mu bantu bwegukukka muvvi osalirwa ekibonerezo kyakwebaka mu kkomera emyaka esatu ne ngassi ya kakadde kansimbi 1.440, ensimbi eza beyilo tezisobola ate kusuka za musango nga kukusinze.

Wabula munnamateeka wa Dr Besigye, Erias Lukwago, agambye nti nóbukadde obusatu ezibasabiddwa nyingi