Amawulire
Kkooti enkulu egobye okusaba kwa bawagizi ba Kyagulanyi
Bya Ruth Anderah,
Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa bawagizi be kibiina ki NUP 49 abaali bawakanya ekyokubawozesa mu kkooti ya maggye
Omulamuzi Esta Nambayo ategezeza nti Ali Bukeni alias Nubian Li, Eddie Ssebuufu alias Eddie Mutwe ne banabwe abalala bavunanibwa mu mateeka mu kkooti ya maggye e makindye kuba basangibwa ne byokulwanyisa
Okulamulakwe akwesigamiza ku nnyingo eya 119 mu tteeka lya UPDF Act eriragira abantu babulijjo abasangibwa ne bintu byamaggye okuvunanyibwa mu kkooti zamaggye.
Omulamuzi era agaanye okukkiriza ebigambibwa nti abasibe bano batulugunyizibwa nyo, ne bamibwa nomukisa okulaba bannamateeka babwe, okugalibwa mu budukulu obumenya amateeka.
Era abawadde amagezi okugguma okutuusa kkooti ye makindye lwe nesalawo ku musango gwabwe.