Amawulire

Kkooti ekakkasiza okulondebwa kwómubaka Christine Ndagire

Kkooti ekakkasiza okulondebwa kwómubaka Christine Ndagire

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abalamuzi basatu abakkooti ejjulirwamu bajjuludde okusalawo kwa kkooti enkulu e Masaka bweyasazaamu okulondebwa kwa Christine Nandagire Ndiwalana ngómubaka wa Bukomansimbi North mu palamenti.

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka, Ketra Katunguuka yali yasazaamu obuwanguzi bwa Nandagire oluvanyuma lwa munna NRM Ruth Katushabe, okudukira mu kkooti nga awakanya obuwanguzi bwe.

Katushabe yawaaba mu kkooti nga alumiriza nti Nandagire talina mpapula za buyigirize.

Katushabe alumiriza nti akakiiko ke byokulonda kakkiriza empapula eziraga nti Nandagire yatuula s.6 ekitali kituufu.

Obujjulizi bwe bugobeddwa ku bigambibwa nti tebumatiza balamuzi era nalagirwa okuyiyirira Ndagire ensimbi zasasanyiriza mu kkooti.