Amawulire

Kkooti egobye omusango ogwawawabirwa omubaka David Sserukenya

Kkooti egobye omusango ogwawawabirwa omubaka David Sserukenya

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah ne Ivan Ssenabulya

Kkooti enkulu egobye omusango gwe byokulonda ogwawabwa eyaliko omubaka wa Makindye Sabagabo Emmanuel Sempala Kigozi nga awakanya okulondebwa kwa David Sserukenya mu kulonda okwaliwo mu gatonya gw’omwaka guno.

Sempala agamba nti omubaka Sserukenya talina mpapula za buyigirize okuba mu palamenti

Wabula Omulamuzi Winfred Nabisinde agobye omusango guno ng’agambye nti Sempala teyawa mpaabaye omubaka Sserukenya mu budde ate ne bweyajja enta mu musango guno teyatekayo kiwandiiko mu butongole mu kkooti nga bwekirambikiddwa mu mateeka.

Emisango emirala egirina okuwulirwa akawungeezi ka leero kuliko ogwomubaka wa Kampala Central Mohammed Nsereko nga yawabirwa Fred Nyanzi Ssentamu bwebaali bavuganya, nogwamubaka wa Rubaga South Gold Aloysius Mukasa.

Ate ye omubaka omukyala owa Kayunga district Aidah Nantaba akakasiza nga bwali omwetegefu okuwangula emisango gye byokulonda egimuvunanibwa mu kkooti.

Ono bwalabiseeko mu maaso gomulamuzi Kazaarwe Mukwaya mu kkooti e Mukono okuwulira emisango gye azze ne mpapula ze ezobuyigirize okukakasa abalowooza nti teyasoma.

Jackeline Birungi Kobusingye eyavuganya ne Nantaba yeyaddukira mu kkooti nga awakanya empapulaze ezobuyigirize.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *