Amawulire

Kkooti egobye okusaba kwa Prof. Kanyeihamba

Kkooti egobye okusaba kwa Prof. Kanyeihamba

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti egobye okusaba okwawaabiddwa omulamuzi wa kkooti ensukkulumu eyawummula Pulofeesa George Kanyeihamba nga baagala okulemesa pulezidenti Museveni okukola sitatimenti ezitiisa abantu abagala okufuna okweyimirirwa mu kkooti.

Abalamuzi ba kkooti ya Ssemateeka bataano okuli Fredrick Egonda-Ntende, Elizabeth Musoke, Christopher Madrama, Monica Mugenyi ne Christopher Gashirabake basazeewo awatali kweyawulamu okugoba okusaba kwa Prof. Kanyeihamba.

Kkooti esazeewo nti prof. Kanyeihamba yawaaba okusaba kwe mu kkooti enkyamu kuba yandibadde addukira mu kkooti enkulu.

Abalamuzi bagambye nti tewali nsonga yetaaga kutaputa mu Ssemateeka wabula Kanyeihamba yandibadde yeeyambisa obutundutundu bw’etteeka erikwasisa eddembe ly’obuntu eryassibwawo Palamenti okukola ku ddembe eryobuntu.

Prof. tatanziddwa nsimbi ezisasanyizidwa mu musango guno kuba yaloopa lwa bulungi kulaba nti eddembe lya bateberezebwa okuba ne misango likuumibwa.