Amawulire

Kkereziya evumiridde ekibba ttaka

Ivan Ssenabulya

December 25th, 2017

No comments

Bya Magembe Ssabiiti

Kkleziya Katolika evumiridde ekibba ttaka ekisusse mu gwanga ekirese abawerako, nga babundabunda olw’ebibanja byabwe okutwalibwa abagagga nabamu nebagwera mu makomera.

Bwannamukulu we Kigo kya Our Lady of Fatima e Mubende Fr Emmanuel Mwerikande asinzidde mu kuyimba Missa eya mazalibwa g’omwana wa Katonda navumirira ekibba ttaka e Mubende.

Fr. Mwerikande agambye nti abantu 80% abali makomera nga basibiddwa olwe nkayana ze ttaka, nebikolwa ebiralala ebityoboola eddembe.