Amawulire

“Kiwedde” e Namugongo

Ali Mivule

June 2nd, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Buli kimu kiwedde okutegeka wali ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo nga eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’abajulizi enkya.

Bwanamukulu w’ekigo kye Namugongo Father Vincent Lubega agamba obulabirizi bwe Hoima obulina okutegeka emikolo gy’omwaka guno bwebulina buli kyetaagisa.

Agamba bo abalamazi  beyongedde okweyiwa ku kiggwa nga era n’abalala basuubirwa olwaleero.

zabulijjo okulaba nga bakuuma amirembe ku lunaku lw’abajulizi.

Ye  aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa y’ategezezza  nga aabserikale  11000 bwebaayuguddwa edda okukuuma emirembe.

Mwesigwa okusinga yeweredde abatujju, abakwaasi b’abakazi n’okulaba nga obubenje ku makubo agagenda ku kiggwa bwewalika.

Kuluno poliisi yakuyungula n’abasona ssabbaawa nga bali wala abamanyiddwa nga ba snipers nga era bakubeera ku bizimbe ebyetoolodde Namugongo okusobola okunogola aleeta essagaliko.