Amawulire

KIU ejjuludde ekiragiro ku bawala abasoma obwannansi nóbuzaalisa

KIU ejjuludde ekiragiro ku bawala abasoma obwannansi nóbuzaalisa

Ivan Ssenabulya

November 10th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Damali Mukhaye,

Kampala international university ettabi eryobugwanjuba bweggwanga, esazizzaamu ekiragiro kyeyabadde eyisiza nga kiragira abayizi bonna abawala abasoma obwannansi nobuzaalisa okusooka okukeberebwa oba bali mbuto nga tebanakola bigezo byabwe ebisembayo.

Kino bakijjuludde oluvanyuma lwokuteekebwa ku nninga ebibiina ebirwanirira eddembe lya bakyala okuyita mu kibiina ki Women Probono Initiative.

Challote Nazziwa okuva mu bannakyewa bano, agamba nti ekiragiro kino kibadde kimenya mateeka era kityoboola enkola ya gavumenti eragira abawala abali embutto okukkirizibwa okukola ebigezo byabwe

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa omumyuka wa Chancellor ku yunivasite eno Prof Frank Mugisha Kaharuza, oluvanyuma lwokufuna okwemulugunya kwa bakyala bano kiraga nti kati abawala awatali kusooka kubekebejja oba bali mbuto.

Mungeri yemu sipiika wa palamenti Anita Among, avumiridde Kampala International Universityokwagala okutekawo obusosoze mu kwagala okukugira abawala abali embuto okukola ebigezo.

Bino abyogeredde mu ssetteserezo akawungeezi ka leero oluvanyuma lwa sentebe wekibiina omwegatira ababaka ba palaemnti abakyala era nga ye mubaka omukyala owa Tororo, Sarah Opendi okutegeeza ababaka kungeri ettendekero lya KIU gyelyabadde lyagala okulemesaamu abawala abali embuto obutakola bigezo.

Sipiika yewunyiza ekiragiro kino bwategezeza nti abayizi ba university tebaba bana wabula bantu bakulu nga na bamu basoma bafumbo.