Amawulire

Kitatta ayanukudde ku misango, nebamuzaayo ku alimanda

Ivan Ssenabulya

February 27th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Omuyima wakabinja ka Boda-Boda 2010 Abdullah Kitata has ddaaki akiriza okwanukula ku misango ejimuvunanibwa mu kooti yamagye, egyokusangibwa nebyokulwanyisa mu bukyamu.

Kitata nabantu abalala 11 bwebavunanibwa wabula begaanye emisango 6 ejibasomeddwa.

bano bazooka kulabikako mu kooti eno nga 13th February wa 2018  wabula nebagaana okubaako kyebanyega mungeri yokuwakanya ekyokubavunanira mu kooti yamagye kubanga ssi bajaasi wabula abantu babulijjo.

oluvanyuma lwokulabulwa ssentebbe wa kooti eno, Lt. Gen Andrew Guti, olwaleero munamateeka waabwe Shaban Sanywa olutuuse nategeeza kooti nti abantu be betegese okwanula.
Kitata oluvanyuma aziddwayo ku alimanda ku nkambi yamagye e Makindye ate absigadde batwalisddwa mu kkomera e Luzira okutuusa nga 19th March 2018.