Amawulire

Kitatta asabye okweyimirirwa mu kooti ya’magye

Kitatta asabye okweyimirirwa mu kooti ya’magye

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Omuyima wekibinja kya Boda-Boda 2010 Abdullah Kitatta nate aziddwayo ku alimanda ku nkambi yamagye e Makindye okutuikira ddala nga September 17th kooti lwenalamula ku kusaba kwe okwokweyimirirwa.

Nga bwekyali ku Gen Kayihura, ne Kitatta asabye ayimbulwe awoze ngava bweru wa kkomera.

Kitatta yakwatibwa nga 20th January 2018 okuva ku Vine Hotel e Wakaliga, wabula agamba nti obulamu bwe ssi burungi nakamu.

Okuyita mu munamateeka we Siena Owomugisha agambye nti mutuuze mulungi Alaina namaka webayinza okumusanga, agasangibwa ku kyalo Nakasajja e Mukono ate ne Nkokonjeru e Nsanji.

Wabula omuwaabi wemisango, Maj. Rapheal Mugisha asabye nti betaaga wiiki 2 okuwanukula ku kusaba kwa Kitatta.

Kitatta avunanibwa mu kooti yamagye, emisango gyokusangibwa nebyokulwanyisa mu bukyamu.