Amawulire
Kitata awawaabidde kooti y’amajje mu kooti enkulu.
Bya Ruth Anderah.
E yaliko omuyimwa wa Boda-Boda 2010 Abdullah Kitata kati adukide mu kooti enkulu nga ayagala emutaase ku kooti y’amajje gyagamba nti emuwozesa kyoka nga simunamajje.
Mukaseera kano Kitata ali mu kooti y’amajje wano e Makindye ku misango egy’okusangibwa n’ebyamabalo, kko nemundu yamajje kyoka nga simunamajje.
Kati mumusango guno kitata awawaabidde kooti yenyini, nga agamba byonna byekola bimenya mateeka.
Sabiiti ewedde kooti eno yagaana okukiriza kitata okweyimirirwa nga egamba nti abantu beyali aleese okumweyimirira baali tebazitowa kimala.