Amawulire

Kidandala akole egya Lukwago- Nabilah

Ali Mivule

September 24th, 2014

No comments

Nabiraha 2

Omubaka omukyaala owa Kampala  Nabila Nagayi awagidde eky’amyuka loodi meeya Suleiman Kidandala okujira nga atuula mu kifo kya mukamaawe Erias Lukwago yadde yamugobye.

Nabilah agamba tewasaanye kubeerawo kubuzabuzibwa ku kya Kidandala okujira nga akola nga loodi meeya kubanga bannakampala beetaaga okuweerezebwa.

Bino webijidde nga wakyaliwo okulumangana ku city hall olwa loodi meeya Lukwago okugoba omumyuukawe nga ate kigambibwa nti teyateeka Mukono ku kiwandiiko ekikakasa Kidandala ku bw’omumyuuka wa Loodi meeya.