Amawulire

Kibuule yegaanye okubba ettaka

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Olwaleero minister omubeezi owamazzi Ronald Kibuule yeeganye ebimwogerwako nti yoomu ku ba mukoko mu kubba ettaka e Buikwe.

Kibuule olwalero alabiseeko mu kakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo gye ttaka, neyegaana okubaako ky’amanyi ku bigambibwa nti yabba ettaka nokutulugunya abantu be Buikwe, natuuka nokutta omuntu.

Kibuule okuyitibwa kyadiridde namuwandu omu okuva e Buikwe okutegeeza akakiiko nti minister kibuule yamubbako ettaka, n’okutta bbaawe, nga  bino byonna byatandika bweyagaana okumuguza ekibanja kye e Kigaya mu Buikwe  nga byaliwo  mu mwaka 2017.

Namwandu Nassali Sanyu yategezeza akakiiko nti oluvanyuma lwa baawe okugaana okuwaayo ettaka minister kyeyali ayagala yasindika basajja be nebamukuba, navunda mu lubutto ekyamuvirako okufa.

Mungeri yeemu gyebuwengeredde nga Musa Katerega agambibwa okuguza Kibuule ettaka eririko enkayana ngaggaliddwa.

Ssentebbe wakakiiko omulamuzi Catherine Bamugemeire alagidde ono bamugalire, kubanga aliko amawulire gabadde azibira.

Akakiiko kategezeza nti ono yoomu, abaddenga yekobaana ne minister okutulugunya abantu, ekyavirako neokufa kwa Dickson Wasswa.

Katerega atwaliddwa naggalirwa ku poliisi ye Wadegeya.