Amawulire

Kibalama atiisatiisiza okutwala EC mu mbuga zámateeka

Kibalama atiisatiisiza okutwala EC mu mbuga zámateeka

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya National Unity Platform (NUP) ekiwayi ekikulemberwa Moses Nkonge Kibalama kitiisatiisiza okutwala akakiiko ke byokulonda mu mbuga za mateeka lwa bufere.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku yafeesi zabwe e Rubaga, enkya ya leero ssabawandiisi wekibiina Paul Kagombe anenya akakiiko ke byokulonda okukwatagana nóbukulembeze bwa NUP ekiwayi ekikulemberwa Robert Kyagulanyi Ssentamu okuwamba ekibiina kyabwe wabula abino abakakiiko ke byokulonda kazze kabyegaana.

Ono agamba nti ngennaku zomwezi 4th July 4th bakwekubira enduulu eri ekitongole kya bambega  okunonyereza ku mpapula Kyagulanyi zeyawa abakakiiko ke byokulonda kasobole okumukakasa nti yennyini kibiina omutuufu.