Amawulire
Kenyatta ne Odinga bakaanyiza okukomya enkaayana.
Bya Samuel Ssebuliba.
Mu Kenya omukulemebeze we gwanga lino Uhuru Kenyatta ko nemune owomukago gwa National Super Alliance Raila Odinga basisinkanye nebakaanyiza okukomya okulwanagana, bakolere wamu okuza kenya ku ntiko.
Bano munsisinkano gy’ebabademu leero, bakaanyiza nti bonna ekibalwanya kenya kubeera bulungi, wabula nga kino tebayinza kukituukao nga balwanagana, kale nga balina okukaanya.
Oluvanyuma lw’akafubo kano omukulembeze we gwanga Uhuru kenyatatta ayogedeko eri egwanga n’agamba nti ye nemunne bakaanyiza nti bakwatagane, era nga bakutabaala egwanga nga babuulira enjiri ey’emirembe.
Guno gwemulundi ogusose bano okusisinkana mu buntu bukyanga bafuna butakaanya nga okulonda kwa 2017 kuwedde era Raila Odinga nasalawo n’olwelayiza.