Amawulire

kenya erabudwa kyo kyokuwera emotoka ezitambula ekiro.

Ivan Ssenabulya

January 5th, 2018

No comments

Bya samuel sebuliba.

Abakugu mu by’entambula balabudde government ya Kenya obutapapa kugaana motoka kutambula mubudde bw’akiro, wabula bafube kusomesa abagoba b’amotoka kubutya bwebayinza okwewala obubenje.

Kinajkirwa nti oluvanyuma lw’akabenje akaagwawo mu gwanga lino nekatta abantu 36, akakiiko akakola ku by’entambula aka National Transport and Safety Authority kaaweze emotoka zona nadala ezitambuza abasabaze okudamu okutambula ekiro.

Twogedeko neyali akulira akakiiko akakola ku  by’okulwanyisa obubenje mu uganda aka Road safety council nga ono ye Dr Mayes Lugemwa  n’agamba nti tekikola makulu kuwera motoka nga zino, kubanga n’obudde obw’emisana obubenje bubaawo

Ono agamba nti edagala lyoka ely’obubenje ly’akusomesa bagoba ba motoka kubutya bwebayinza okwewala obubenje, okuteekwao abakebera ebiduka, kko n’okukola enguudo.