Amawulire

KCCA yeddizza paaka

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Taxi park

Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority olwaleero mu butongole beddizza entambula ya Taxi mu kibuga

Abasirikale b’ekitongole kino balabiddwaako ku miryango gya paaka enya okuli enkadde n’empya, eya USAFI ne mu Kisenyi.

Bano babadde bambadde yunifoomu za KCCA era nga babadde ne ku siteegi ezitali zimu.

Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba nti basanyukidde ekya ba Taxi okukolagana nabo nga tewabaddeewo kavuyo konna.

Ono asabye ba dereeva okukolagana nabo okwewala akavuyo k’ekika kyonna.

Wabula aba Taxi wansi w’omukago gwaabwe ogukulirwa Mustapha Mayamba bagamba nti bino tebajja kubikkiriza kubanga omulimu gwaabwe beebalina okuguddukanya sso ssi KCCA.

Kyokka bbo ba dereeva boogera bya njawulo ng’abamu babiwakanya ate abalala bakiwagidde.