Amawulire

KCCA yakuzimba ekifo we balonderera entambula yébidduka

KCCA yakuzimba ekifo we balonderera entambula yébidduka

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Ekitongole ki Kampala Capital City Authority nga nga kiri wamu ne munywanyi wakyo okuva mu gwanga lya Japan, abatongozza okuzimba ekifo we banalondolera entambula y’ebidduka mu kibuga.

Ekiof kino kigenda kuwemmemnta obuwumbi 63 okuva mu Gavumenti ya Japan ng’eyita mu kitongole kyayo ekya JICA.

Omulimu gw’okuzimba ekifo kino gwakukulungula emyeezi 30.

Ekiwandiiko ekivudde mu Kampala Capital City Authority nga kigenda eri ab’amawulire kitegeezezza ng’okuzimbibwa kw’ekifo kino bwekugenda okuyambako munambika n’enkwata y’entambula y’ebidduka mu Kampala.

Wansi w’enteekateeka eno, wakuteekebwawo n’ebitaala mu masanganzira agawerera ddala 27 nga muno bakutwaliramu amasanganzira ku Rwenzori Courts, Grand Imperial, Mulago, Mulago Mortuary wamu ne ku bbiri.

Okusinziira kwakulira ekitongole kya KCCA Dorothy Kisaka, okunoonyereza okwakolebwa kulaga nti akalipagano mu Kampala kaviiriddeko okutambula akasoobo mu ntambuza y’emilimu egivaamu ensimbi.