Amawulire

KCCA eyodde abaana bókunguudo 180 mu kikwekweto

KCCA eyodde abaana bókunguudo 180 mu kikwekweto

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekidukanya ekibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) leero kikoze ekikwekweto mwebayooledde abaana bókunguudo abawera 180.

Okusinzira ku Peter Mayanja lwanga avunanyizibwa ku baana mu KCCA, abaana abakwatibwa mu kikwekweto batwalibwa mu district ye Napak okufuna obulabirizi obulungi.

Ono era ategezeza nga bwebali muntekateeka eyokubagawo etteeka erinayamba okumalawo abaana bokunguudo.

Era nga waliwo abantu bebali mu kunonyerezako abagambibwa okuba nti bebakima abaana bano ewabwe ne babaleeta mu bibuga okubakolera ogwobusabira.