Amawulire

Kcca ewezze okugaba liizi mu butale

Kcca ewezze okugaba liizi mu butale

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ba kansala ku lukiiko lw’ekibuga olwa KCCA bayisizza ekiteeso, mwe baweredde okugaba liizi ku butale bw’omu Kampala.

Mu lutuula olukubiriziddwa loodi meeya wa Kampala Erias lukwago, bakansala bakkiriziganyiza bukuyege nti okusinzira ku ntalo eziri mu butale kcca erina okwediza obuyinza.

Lukwago nga yayanjudde ekiteeso kino agambuye nti azze afuna okwemulugunya ku katale ke Bugoloobi nga bwe kagenda okuweebwayo eri bamusiga nsimbi bakadukanye ne wankubadde nga abasubuuzi tebakiwagira.

Lukwago agambye nti obutale buno bwebuva mu mikono gya KCCA, abasubuzi be basinga okukosebwa era bamaliriza babonabona, okuli okubabinika ebisale ebingi nokubagobaganya nga abaggaga babutunze.

Awadde eky’okulabirako ku butale nga aka Usafi, ake Wandegeya ne Owino obufumbekedemu entalo