Amawulire

KCCA ewera okulwanyisa abasibye abaana kunguudo

KCCA ewera okulwanyisa abasibye abaana kunguudo

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu

Ab’obuyinza mu kitongole kya Kampala Capital City Authority baweze okugenda mu maaso n’okukwata abantu abakulu abayingiza abaana mu bikolwa ebimenya amateeka ku nguudo z’ekibuga okutuusa nga omuze guno guweddewo

Mu nkola empya, KCCA kati etandise okukwata abantu ssekinoomu abateeberezebwa okuba nga bawagira ebikolwa bya baana okuba kunguudo mu divizoni 5 eza Kampala.

Akulira ekitongole kino Dorothy Kisaka agamba nti waliwo abantu 30 abakwatiddwa kunsonga eno era olwaleero basimbiddwa mu kkooti ya City Hall nebasindikibwa ku alimanda lwa butabeera na muvvuunuzi walukaramaja