Amawulire

KCCA etandise kunteekateeka ezókudabiriza enguudo zómu Kampala

KCCA etandise kunteekateeka ezókudabiriza enguudo zómu Kampala

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Akulira entambuza y’emilimu mu kibuga Kampala Dorothy Kisaka abitaddemu engatto enkya ya leero natandika okutalaaga amakubo agali mu mbeera embi agali mu kukolebwako mu ngeri y’okukubwa ebilaka.

Omulimu guno gwatandiibwako ebbanga lya sabiiti 2 eziyise oluvanyuma lw’abakwatibwako ensonga okukilaba nga zibadde mu mbeera mbi oluvanyuma lwa namutikwa w’enkuba okufudemba ennyo ebiseera ebiyise.

Enguudo naddala mu masekati g’ekibuga ziri mu mbeera mbi wabula ng’enteekateeka ziwedde okutandika okuzimbibwa obupya okutandika n’omwezi ogw’okubiri omwaka guno.

Obukadde bwa doola obusoba mu 288 bwebugenda okusasanyiizbwa ku nguuso zino n’obuvujjirizi okuva mu African Development Bank.

Simon Kasyate nga yeweby’amawulire ku KCCA agamba nti wadde ng’amakubo gano gagenda kudaabiriizbwa, babadde tebasobola kutunula butunuzi nga banna kibuga tebalina webayisa kigere.