Amawulire

KCCA essira elitadde kukukola ngudo, okutumbula obulamu, technologia mu 2023

KCCA essira elitadde kukukola ngudo, okutumbula obulamu, technologia mu 2023

Ivan Ssenabulya

January 2nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole kya Kampala Capital City Authority-KCCA essira balitadde ku byatekinologiya, okuzimba enguudo, n’obulamu bw’abantu mu kutumbula ekibuga ekiri ku mulembe mu mwaka omuggya.

Akulira ekitongole kya KCCA, Dorothy Kisaka ategeezezza K/DembeFM nti ekitongole kino kyagala okutumbula embeera ennungi ey’obusuubuzi n’embeera ennungi ennyo eri abatuuze b’omu kibuga.

ategeezezza nti gavumenti n’emikwano gyayo egy’enkulaakulana bawaddeyo ssente okuddaabiriza enguudo z’ekibuga ezisoba mu 30 mu divizoni z’ebibuga ettaano.

Era ekitongole kino kinoonya okutumbula ekibuga ekitaliimu mugotteko

Kisaka abikudde ekyama nti gavumenti yawaddeyo ettaka lya yiika kkumi mu kibuga mwegenda okuteeka abaali batundira kunguudo zomu kibuga era nga kati mu mwaka guno tewali muntu yenna agenda kukkirizibwa kukolera ku luguudo lwonna mu Kampala.

Mungeri yeemu alabudde nti mu mwaka gwa 2023 tebagenda kukkiriza bazimba ebizimbe mu bukyamu nga tebafunye pamiti era ebinasangibwa bwakumenyebwawo