Amawulire

KCCA eragiddwa okuleeta empapula ezikwata ku bavubuka abafuna ensimbi zókwekulakulanya

KCCA eragiddwa okuleeta empapula ezikwata ku bavubuka abafuna ensimbi zókwekulakulanya

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku bikolebwa ebitongole bya gavumenti kalagidde abakungu okuva mu KCCA okuteeta ebiwandiiko byonna ebiraga ebibiina by’abavubuka eby’enjawulo ebyafuna ensimbi okuva munsawo ya bavubuka.

Akakiiko era kalagidde KCCA okuleeta olukalala okuli ennamba za masimu eri bammemba b’ebibiina eby’enjawulo abaafuna kunsimbi zino.

Ekiragiro kino kifulumiziddwa ssentebe w’akakiiko kano nga naye akola emirundi ebiri ng’omubaka wa Nakawa west Joel Ssenyonyi, oluvannyuma lwa kulira ensonga zékikula ky’abantu n’abavubuka mu KCCA Eunice Tumwebaze, okulemererwa okumatiza akakiiko lwaki baalemererwa okukung’aanya obuwumbi busatu n’obukadde 600 ku buwumbi buna n’obukadde 600 ze baawa abavubuka bano okwekulakulanya.

alipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti eya 2021-2022 eraga nti KCCA yaweebwa obuwumbi buna n’obukadde 600 okuziwa ebibiina by’abavubuka eby’enjawulo mu 2014 era nga zaali zirina okuddizibwa wabula omwaka 2017 we gwatuukira KCCA yali esobodde okukunyangako akawumbi kamu kokka.

Wabula Tumwebaze ategeezezza akakiiko nti baalemerwa okuzza ssente zonna olw’okuba ebibinja ebyafuna ssente zino byataataaganyizibwa ekirwadde kya covid19 wabula nga ensimbi zino bakyazilondoola zakudda.