Amawulire

KCCA emenye likodi mu musolo ogukunganyizibwa

KCCA emenye likodi mu musolo ogukunganyizibwa

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Ekitongole ki Kampala Capital City Authority, kitegeezezza nga omusolo kwekikungaanya gweyongedde okusinga emyaka gyonna egizze gibeerawo.

Omusolo guno gutuuse ku buwumbi 93 n’obukadde 240 nga kwekweyongera n’ebitundu 16 ku 100.

Mu myeezi 09 egiyise okuva mu mwezi gw’omusanvu omwaka 2022 okutuuka mu mwezi gw’okusatu omwaka 2023, omugatte gw’omusolo ogwakunganyizibwa gwali obuwumbi 79 bwogerageranya n’ekiluubiliro eky’obuwumbi 77.

Okusinziira ku akulira eby’okuwenja omusolo mu KCCA Robert Nowere, kino kivudde bwerufu obweyongedde mu nkunganya y’omusolo naddala nga bakozesa enkola ez’omutimbagano, okweyongera kw’obungi bw’abantu abasasula omusolo n’ebilala.

Nowere agamba nti wadde nga baliko ensibuko z’omusolo ezimu zebafiiriddwa nga abalangira mu kibuga, aba booda booda, abakozi b’omubutale, baliko ebifo ebilala byebagunjawo ebibayambye okubafunira omusolo omulala omuli oguva mu bizimbe guno nga gukoze ebitundu 50 ku 100.

Agattako nga kati amanyi bwebagoorekezza okugerekera ebitundu gyebabadde batannantuuka okugenza nga mu gombolola ly’e Makindye, Rubaga ne Kawempe oluvanyuma lw’okumaliriza e gombolola y’e Nakawa n’eyomukulu w’egombolola ly’ekibuga (Central division).

Ono abadde ku offiisi ya ssaabaminisita awayindira okulambikibwa kw’ebikoleddwa gavumenti mu myaka 2 egiyise mu kisanja kino wansi w’enteekateeka ya manifesto egende okukomekkelerera nga 25 omweezi guno.