Amawulire

KCCA egenda kugula ettaka ku buwumbi 81

KCCA egenda kugula ettaka ku buwumbi 81

Ivan Ssenabulya

April 4th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye

Ekitongole ekitwala ekibuga ekikulu, ekya Kampala Capital City Authority bategezezzanga bwebali mu ntekateeka okugula ettaka ku buwumbi bwa silingi 81 okuzimba obutale obumala, obunatuuza abasubuzi abawerako.

Akulira ebyensimbi mu kitongole kya KCCA John Mary Ssebuufu, agambye nti ssente zino zaakujjira mu mbalirira y’omwaka gwebyensimbi ogujja eya 2022/23.

Mungeri yeemu Ssebuufu agambye nti babadde tebanafuna ssente okussa mu nkola ekiragiro ky’omukulembeze wegwanga ku butale.

Omwaka oguwedde, omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni yalagira ekitongole kya KCCA okutwala enzirukanya yemirimu mu utale bwonna oluvanyuma lwabasubuzi okuvaayi nebmulugunya engeri gyebabbibwamu obukulembeze bwobutale.

Kati Ssebuufu agambye nti betaaga obuwumbi 5 kulwentekteeka eno, okusasaula amazzi, amasanyalaze, emisaala gyebakozi, okuyola kasasiro, okuyonja zzi kabuyonjo nebirala.