Amawulire

KCCA efunye ambyulensi 7 okutumbula eby’empeereza

KCCA efunye ambyulensi 7 okutumbula eby’empeereza

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole kya Kampala capital City Authority-KCCA olwaleero efunye ambyulensi musanvu okutumbula empeereza y’ebyobulamu mu divizoni z’ekibuga ettaano.

Zino zaguliddwa ku kawumbi kamu n’obukadde 600 nga buli emu yaguliddwa obukadde 230.

Bwabadde asimbula ambyulensi zino okugenda mu magombolola gomu kampala, ku City Hall loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, asabye gavumenti ebongere ensimbi basobole okugula ambyulensi endala ezitakka wansi wa 70 ng’agamba nti 12 eziriwo ntono nnyo bw’ogeraageranya n’omuwendo gw’abantu mu kibuga.

Lukwago asabye bameeya b’ebibuga okulaba nga ambyulensi zino ziwa obuweereza obw’amangu abali mu bwetaavu awatali kusosola era nabakuutira okuzirabirira obulungi.

Mungeri y’emu abakulu mu KCCA okuwa embalirira kunsimbi zebakozeseza okugula ambyulensi kuba bbo baali babala nti buli emu yakugula shs 150M wabula ate bakitegedde nti buli emu yagula shs 230M.