Amawulire

Kazimba asabye aba UCDC okuleka essomo lyéddiini mu bisomesebwa Abayizi

Kazimba asabye aba UCDC okuleka essomo lyéddiini mu bisomesebwa Abayizi

Ivan Ssenabulya

July 25th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ssabalabirizi wa Uganda Kitaffe mu Katonda Samuel Stephen Kazimba Mugalu abuulidde ekitongole kya gavumenti ekivunanyiizbwa ku nambika y’ebisomesebwa ki Uganda Curriculum Development Centre okulowooza ku ky’okuleka essomo ly’eddiini mu ebyo ebisomesebwa abayizi mu masomero, mu kawefube agenda mu maaso okukola engosereza mu biyigirizibwa mu masomero okwetoloola eggwanga.

Bino abyogeredde ku kitebe kya National Curriculum Development Centre ku bikujjuko by’okujjikira ng’ekitongole ekyo bwekiwezezza emyaka 50 bukya nga kitandikibwawo.

Ono era asabye gavument bano ebongere ensimbi banyikizze okukola okunoonyereza mu bintu ebigasa ebyenjigiriza eby’eggwanga.