Amawulire

Kayihura ali mu mbeera nnungi

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya

Ssentebbe wakakiiko ke ddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights commission Meddy Kaggwa ategezeza nti eyali ssbapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura ali mu mbeera nnungi, wali ku nkmabi yamagye e Makindye gyakumibwa.

Kayihura yakwatibwa wiiki ewedde wabulanga nokutuusa kati tebanalaga misango jimuvunanwa.

Kaggwa era yakyaliddeko nomubaka wa munispaali ye Mukono Betty Nambooze ku ddwaliro e Kirudu , wabula ku kya Kayihura agambye nti tali bubi era ablinze lwebanamutwala mu kooti.

Ate aba Democratic Party e Mukono basabye omubaka waabwe Betty Nambooze ayimbule oba bamutwale mu kooti.

Namboozengali ku kitanda akyali mu mikono gya poliisi, ku misango gyokuwandiika ebigambobwa okukuma omuliro mu nfa ya Ibrahim Abiriga.

Ssentebbe wa DP mu munispaali ye Mukono Haji Lukeman Ssegayi ali mu mbeera mbi.

Bino webijidde nga Nambooze yekubidde enduulu mu kakiiko ke ddembe lyobuntu.