Amawulire

Kawefube ku kutaasa obutonde ayongedwamu amaanyi

Kawefube ku kutaasa obutonde ayongedwamu amaanyi

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akola nga dayirekita avunaanyizibwa ku nsonga z’obutonde bw’ensi mu minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi Stephen Mugabi asabye abantu ssekinnoomu ne kkampuni okwegatta ku kaweefube w’okuzzaawo obutonde bw’ensi

Omulanga guno agukoze bwabadde atongoza enteekateeka eyokusimba emiti eyambe mu kuzaawo ebibira

Enteekateeka eno eyambibwako ekitongole kya Climate Asset Management nga bayita mu kibiina kya Global ever greening Alliance egenderera okuzzaawo omugatte gwa yiika ze bibira 560,000 mu disitulikiti 36 ez’eggwanga okuli obugwanjuba bw’amaserengeta ga Uganda, Karamoja ne Mt Elgon era nga ya kuganyula amaka ga abalimi 350,000.

Mugabi agamba nti pulojekiti eno tegenda kukoma ku kulongoosa mbeera za maka agatunuuliddwa wabula egenda kutondawo emirimu n’okuyambako mu kaweefube wa gavumenti ow’okuzzaawo ebibira.