Amawulire

Kattikiro avumiridde eby’okunenya eyatunze ensenene ku nnyonyi

Kattikiro avumiridde eby’okunenya eyatunze ensenene ku nnyonyi

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Kamalabyonna wa Buganda avuddeyo okwogera ku muvubuka eyakwatiddwa ku katambi ngatunda ensenene ku nnyonyi ya Uganda Airlines eyabadde edda e Dubai.

Paul Mubiru yavuddeyo neyetonda, nga yagambye nti yabadde akwata katambi ke, okukateeka ku TikTok nayenga tekyabadde kigenderere nti akola busbuzi ku nnyonyi.

Mu katambi kano yawuliddwa ngagamba nti mutwalo mutwalo, ensenene.

Kati Kattikiro Charles Peter Mayiga awolererezza Mubiru, ngamba nti abantu tebasaanye kumwogerere nnyo, kubanga wlaiwo nebiralala bingi ebikolebwa ku nnyonyi kuno, atenga tewali yabadde yemulugunya ku nsenene zino naye babadde bagula mu ssanyu.

Agambye nti alina ne balaba nga bakola obusbuzi bwokuvungisa ssente ku nnyonyi, naye tewali yali abogeddeko.

Abalala, batwala emmere yaabwe ku nnyonyi, kati aabye abaddukanya kampuni yegwanga eye nnyonyi okuvaayo bawere ebikolwa bino byonna.

Abaddukanya Uganda Airlines baavuddeyo nebetonda, wabula basubizza nti baakukitunulamu obanga Nsenene, banazigatta ku mmere gyebatunda.