Amawulire

Kattikiro asisinkenye Aboogezi boku mikolo

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga asisinkanye aboogezi Bo’kumikolo n’abasibirira entanda omuli, okulungamya abakko kungeri gyebalina okweyisaamu ku buko, abakko obutaddamu kuzina mazina nga bali ku buko, Abako obutaweebwa mukisa kwogerera ku buko, omuko okusooka okusimba omuti nga tannava ku buko, okwambala ekkanzu enganda era eweesa ekitiibwa, abawala abawerekera omugole nabo obutaddamu kuzina mazina agatali ga bugunjufu, okuyimba ekitiibwa kya Buganda obudde bwonna, ekiro oba emisana.

Katikkiro asabye aboogezi b’okumikolo okunyweza olulimi oluganda ate mu butuufu bwalwo.