Amawulire

Kattikiro alabudde ku nyambala

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2018

No comments

Bya Gertrued Mutyaba

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde ku nyambala eweesa ekitiibwa kyagambye nti tekitegeeza kwambala ggomsei buli kiseera.

Agambye nti omuntu yenna okwewa ekitibwa asanidde okwegenderezza enyambala ye okukakasa nti teyeesitaza abalala era n’awa eky’okulabirako eky’abawala abambala obukete nebalowooza nti banyumye olwokuba boolesa amagulu nebitundu byomubiri ebiralala.

Asinzidde ku Masaka n’agamba nti abantu bangi abogerwako nti bambadde nebanekaneka nayenga bali mu ngoye zabulijjo ezitali
gomesi na kanzu.

Ensisinkano eno egendereddwamu okubangula ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegeka emikolo gy’obwakabaka butya bwebalina okweyisa.