Amawulire

Kattikiro ajjukiza abantu ku kwegema Hepatitis B

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okwegema obulwadde bwa Hepatitis B nategezza nti butta, okusinga nebirwadde ebirala ebimanyidwa.

Katikkiro ategezezza nti  Ssaabasajja Kabaka akubiriza abantu okubeera abalamu kubanga kwekutambulira enkulakulana n’okutwala Buganda mu maaso.

Owembuga abadde akulembeddemu abantu ba Ssabasajja okuddamu okwekebeza omulundi ogw’okubiri obulwadde bwa Hepatitis B.

Entekateeka eno yawoomeddwamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation nga bali wamu n’eddwaliro lye Bukalango eritambulira wansi w’obwakabaka.

Okugema kuno kubadde mu bimuli bye Bulange nokwekebeza okwobwerere.