Amawulire

Kattikiro agenze Buvuma okutongoza ‘Mwanyi Terimba’

Kattikiro agenze Buvuma okutongoza ‘Mwanyi Terimba’

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, ebitaddemu engatto nayolekera essaza lue Buvuma, gyagenda okutongoza kawefube wa ‘Mwanyi terimba’

Katikkiro awerekeddwako minisita w’ebyobulimi Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, ow’ebyamawulire Owek Noah Kiyimba, ow’Abavubuka Owek Henry Sekabembe Kiberu, ngeno agenda kulambula nabantu ba Ssabasajja abwangaliira mu biznga okulaba embeera gyebalimu.

Mu lugendo luno, era kugendeddeko Ssenkulu wa Bboodi eya BUCADEF Omuk. Ishak Lukenge, n’abakungu bobwakabaka abalala.

Ssabasajja yasiima naleeta kawefube wa Mwanyi terimba eri abantu be, mu ntekateeka yokulwanyisa obwavu.