Amawulire

Katonda yakyawaniridde obwakabaka

Katonda yakyawaniridde obwakabaka

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa ne Ivan Ssenabulya

Mukama Katonga yakyawaniridde obwakabaka era, bwakuberawo okutuusa nga Katonda akyaliwo.

Omulabirizi Samule Kajoba akulira ensikiziriza ya Seventh Day Adventist Church mu Uganda, yagumizza Obuganda bwati bwabadde akulembeddemu okusaba ku mattikira ga Ssabasajja agemyaka 25, agabumbujjira mu Lubiri e Mengo.

Ategezezza nti Katonda nobwakabaka kizibu okubyawula.

Obubaka abujje mu Zabbuli 126.

Omusumba Kajoba era yebazizza omutanda olwokugatta abantu ba Buganda nokugatta enzikiriza zonna awatali kusosolamu.

Tkomye awo yebazizza nolwettaka okutudde amakanisa nokutumbula enkulakulana, ebyenjigiriza, ,nebyobulamu mu bwakabaka nemu Uganda awamu.

Mu biralala emikolo gikyagenda mu maaso e Mengo, nga abagenyi abakulu baateredde dda bubya.

Mu bagenyi abaliwo kwekuli ne Kyabazinga wa Busoga, ne Asantehene owa Asante mu Ghana nga ye mugenyi omukulu.

Gybuvuddeko omutanda yatuuse, nga kati ateredde ku Namulondo emikolo gigenda mu maaso.

Ssabasajja kabaka nga yakatuuka asoose kulamusa namulondo, bwavudde wano N’akongojjebwa ab’embogo okuttuukira ddala ku Namulondo, ngobulombolombo bwebugamba.

Eno era wabadewo n’okukuba emizinga 25 egyokujukira nga emyaka bwgiweze 25 ngomutanda alamula Obuganda.