Amawulire

Katikkiro ayanukudde Muzaaata- Jjawo akajanja

Ali Mivule

March 23rd, 2015

No comments

Katikkiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga asekeredde abatandise okuseketerera enkola y’okusonda ettofaali nga era ssi wakupondooka olw’ebigambo by’abantu .

katikkiro in Undraiisng drive

Kamala byonna aweze nga bwagenda okutwala maaso enteekateeka eno ekizimbe kya Masengere nebwekinaaba kiwedde okukwasibwa ssabasajja ku mazalibwa ge nga 13 omwezi ogujja.

Bino Katikiro abyogeredde mu lukiiko olubadde wali e Bulange Mengo nga luteesa ku ntegeka z’amazalibwa ga ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 ag’emyaka 60 egy’obuto.

Katikiro era akubirizza abantu ba ssabasajja okujumbira emirimu gyonna egigendereddwamu okuzza Buganda ku ntikko gamba nga okupangisa ku kizimbe kya Masengere.

Wano w’alangiridde nga essaza lye Kyaggwe bwerikyalidde empanga  mu ganaago mu mirimu gy’enkulakulana egigendereddwamu okuzza Buganda ku ntikko .

Ategezezza nga ssabasajja bweyasiimye okulabikako eri abantu mu ssaza lye lino okubakwasa ekirabo kyabwe nga 30-May-2015.