Amawulire

Katikkiro ayanjizza ebye bulaaya

Ali Mivule

September 17th, 2014

No comments

Katikkior in Dubai

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga olunaku olwalwero ayanjulidde obuganda byeyajja mu olutabalo emitala wa Mayanja gy’abadde ng’akungaanya ettofaali

Katikiro agambye nti  ensmbi ezisoba mu bukadde 435 zeezakunganyizibwa mu ssabbiiti ebbiri zeyamaze emitala w’amayanja.

Wano w’ansizidde n’asaba abantu ba Ssabasajja okwongera okuyigira ku mawanga g’abazungu, okukuuma ennono wamu n’ebyobuwangwa byaabwe.

Mayiga era agambye nti abaganda balina okwewala okwekwasa obusongasonga okugaana okukola wabula bongere okukola enyo okuzza Buganda kuntikko.