Amawulire

Katikkiro asiimye Ssaabasajja okumuteekamu obwesige námuwa Ddamula

Katikkiro asiimye Ssaabasajja okumuteekamu obwesige námuwa Ddamula

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kamala byonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asiimye Ssabasajja Kabaka, olwokumwesigisa Obwakatikkiro kwamaze emyaka kati 10 beddu.

Okwogera bino asinzidde Bulange Mengo bwabadde asisinkanye abékika kyómutima ababadde bazze okumuyozayoza olwekuweza emyaka 10 nga akutte ddamula.

Ono agamba nti emyaka 10 gyamaze ku bwakatikkiro mingi nyo oba olyawo yalibadde yasiima dda nalonda omulala.

Katikkiro yenyumiriza mu byasobodde okukola ate neyebaza abékika kyomutima abamukwatiddeko okutukiriza obuvunanyizibwabwe

Mungeri yemu Mayiga, akubiriza abaganda okwongera okunyweza esiga lye bika, nokwenyigira muntekateeka ezénkulakulana mu bwakabaka ne Uganda yonna.