Amawulire

Katikkiro asabye abafirika okwetanira okuwandiika ebitabo ku Buwangwa

Katikkiro asabye abafirika okwetanira okuwandiika ebitabo ku Buwangwa

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atongoza ekitabo ‘’Obuwangwa ne Nnono’’ nómulanga eri abafirika okwetanira okuwandiika ebitabo ebikwata ku nnono zaabwe.

Ekitabo kino ekyawandikiddwa omukulu wékika kyé Ngaali, Omutaka Maweesano, Deus Kyeyune Kukeera, kiyigiriza ku bintu bingu ddala naye ngókusinza byetoloolera ku Buwangwa ne Nnono za Buganda.

Bwabadde atongoza akatabo kano nga asinzira mu bimuli bya Bulange e Mengo, Mayiga akaatiriza obukulu obuli mu kuwandiika nakubiriza buli muntu alina ekitono ekyókuwandiika okukyeyambisa ne kigendererwa ekyokukuuma obuwangwa mu mirembe egijja.

Ono yebaziza Omutaka Maweesano okuggumira okusomoozebwa okusangibwa mu kuwandiika omuli ebbula lye nsimbi, okunonyereza ne birala nasobola okufulumya ekitabo kino.

Mungeri yemu ye Omutaka Maweesano, nnyini katabo kano akubiriza buli muganda gyali okukasoma basobole okumanya obuwangwa bwabwe ne bintu ebirara ntoko ebikwata kunkuza ya baana, entumbula ye byenfuna mu maka, ne birala