Amawulire

Katikkiro alambudde amasiro

Ali Mivule

June 6th, 2013

No comments

katikkiro Mayiga

Katikiro wa buganda Charles Peter Mayiga  yeyamye okuzaawo amasiro ga ba ssekabaka ba Buganda, agabengeyeza mu muliro ogutannamanyibwa kwe gwava, emyaka esatu egiyise.

 

Owek. Mayiga agambye nti wakufuba okulaba nga gamalirizibwa mu kiseera ky’aghenda okumala mu ntebe eno.

Katikiro okwogera bino abadde akyadde omulundi gwe ogusoose mu masiro g’e Kasubi Nabulagala wamu n’okweyanjula nga katikiro wa buganda.

Asabye abantu okukuuma obuwangwa nebifo  by’enono.

Nga atuuseyo akaze emirimu egyenjawulo wamu nokuwayo amakula omuli ekita kyomwenge, enkota zetooke, nemyanyi enganda.

Mayiga ayaniriziddwa nnaalinya wamasiro Getrude Tebatta gwaabwe nekatikiro wamasiro gano ssalongo mulumba.

Oluvanyuma  katkiro ayolekedde amasiro ge wamala e Nansana.