Amawulire

Katikkiro ajjukiza gavumenti ku nfuga eya Federo

Katikkiro ajjukiza gavumenti ku nfuga eya Federo

Ivan Ssenabulya

April 9th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde nga bwekijja okubeera ekizibu Uganda okutuuka ku mutendera gw’amawanga agali mu mbeera eya yadde yadde mu byénfuna ngébikorwa ebyóbuli bwénguzi byeyongera kufumbekera mu gwanga.

Mayiga era avumilidde nékkobaane alyalabikidde mu bubbi bwámabaati gé Karamoja era n’asaba enkola eya Federo elowooozebweko, gyagamba nti yenayamba okukola ku bizizbu ebiluma abantu ng’abe Karamoja bebabbidde amabaati

Katikkiro awadde n’amagezi eri gavumenti elowooze nnyo neku bintu ebirina okusoosawazibwa mu bitundu ebyénjawulo kuno nga kwatadde n’okuvumilira oyo yenna eyaleeta ekilwooozo kyókuwa abantu bé Karamoja amabaati nga ate bakimanyidde ddala nti omulimu gwabwe kulunda.

Abadde ayogerera mu kusaba kwámazuukira ku Lutikko e Rubaga