Amawulire

Katikkiro afundikidde obugenyibwe mu Scandinavia

Katikkiro afundikidde obugenyibwe mu Scandinavia

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro akomekkerezza olugendo lwe olw’okulambula abantu ba Kabaka mu bitundu eby’e Scandinavia n’ekijjulo ekyamutegekeddwa olukiiko lw’omubaka wa Kabaka, Owek. Nelson Mugenyi.

Mu bubaka bw’atisse Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Katikkiro yeebazizza nnyo Omubaka wa Kabaka mu Scandinavia n’abantu bonna baakoze nabo, olw’ennyaniriza; enteekateeka; n’endabirira ennungi gye bafunye mu bitundu byonna gy’ayise mu Scandinavia: Norway; Netherlands; Gothenburg ne Stockholm.

Abakakasizza nti ye ne beyatambudde nabo bayize bingi bye bajja okwanjula nga bakomyewo eka.

Ku lulwe, Oweek. Nankindu, abasabye ab’e Scandinavia n’ebitundu bya Europe ebiriranyewo, balowooze ku ky’okukola enteekateeka ey’olusisinkana olumu bonna waakiri buli luvannyuma lwa myaka ebiri, kikendeeze ku nsaasaanya.

Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Scandinavia, Oweek. Nelson Mugenyi yeebazizza nnyo Katikkiro okubasoosowaza ku mulundi guno oluvannyuma lw’ebbanga nga tatambula.

Katikkiro n’ekibinja ekyamuwerekerako bakedde kw’olekera Scotland enkya ya leero.