Amawulire

Eyaliko omumyuka wa Katikkiro owek. Kaaya Kavuma afudde

Eyaliko omumyuka wa Katikkiro owek. Kaaya Kavuma afudde

Ivan Ssenabulya

July 28th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Obuganda enkya ya leero bukeredde mu kiyongobero ky’okufa kw’eyaliko omumyuka wa katikkiro ow’ekitiibwa Godfrey Kaaya Kavuma.

Okusinzira ku Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’ono yakedde okubikira obuganda mu butongole ategezeeza nti Owek. Kaaya kavuma yasiza ogw’enkomerero mu kiro ekikeseza olunaku olw’aleero mu ddwaliro erya International Hospital mu Kampala.

Omugenzi aluddde nga atawanyizibwa ekirwadde ky’ensigo nga wafiiridde abadde ku bujanjabi wano n’emitala w’amayanja.

Kaaya Kavuma yaliko omumyuka wa katikkiro mu biseera owek. Mulwanyamuli ssemwegerere we yaberera kamala byonna wa Buganda.

Ono mungeri yemu yeyali omuwanika ku mukolo gwa bamatikira ga ssabasajja mu mwaka gwa 1993.

Owek. Kaaya Kavuma yaliko ne minisita webyettaka mu gavumenti ya Beene.

Ono wafiiridde y’abadde sentebe w’olukiiko oLufuga ladiyo ya ssabasajja.

Entekateeka y’okuziika yakwanjulibwa gye bukyako.