Amawulire

Katikiro avumiridde ebikolwa eby’okweraguzza.

Ivan Ssenabulya

December 4th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Katikiro wa Buganda Owek.Charles Peter Mayega  akalaatidde abantu ba Buganda okukomya  emize egy’okwelaguza , nadala kundwadde ezimanyidde , kino kitaase abantu okufa endwadde eziyinza okwewakalika.

Katikiro okwogera bino abadde agulawo olukiiko lwa Buganda oluggalawo omwaka guno wano  mu Bulange e Mengo.

Ku nsonga edala katikiro  ajukizza Abaganda okwebulirira ku nsonga Ssabasajja Kabaka gyaazze ayogerako, nga eno yeyokwetangira akawuka ka mukenenya.

Katikiro okusinga ajukizza kunkola ey’okwekuuma nadala, abasajja bakiriize okwekebeza, songa nabafumbo bongere okubeera abesiggwa.